Music Video

Fred Sebatta - Sam Wange (Official Video)
Watch {trackName} music video by {artistName}

Featured In

Credits

PERFORMING ARTISTS
Fred Sebatta
Fred Sebatta
Performer
COMPOSITION & LYRICS
Fred Sebatta
Fred Sebatta
Songwriter

Lyrics

Emikwano giba gyakabi Sam kyekyo nange nkyerabiddeko kubanga ekibonyabonya obulamu bwange mpulira nkwagala maama ekinsagambiza nz'obudde okukya ateera nenzibya mpulira nkwagala kufa simanyi kwekiva ye mukwano wankola ki Bangi abalumizibwa baleke balumwe ate banaddawa Bulikya nembatuulira nze nemba mu maka ate balimpita wa Taata nkozze nnyo simanyi kwekiva wulira bwenkudaagira ddaali wange kimuli kyange akasana akaberyeberye omulenze wange kimuli kyange akasana akaberyeberye Sam gyali Maama nakola ntya kulwange ka ngume ate nze naddawa wabula ekintu kyendabye nze ntuuse okufa ku lwabo bolina Bangi abampalanira omulenzi wange naye maama nensirika Aaa Mbalaba nga kibaluma kinene naye ate nze nsinga Bangi nnyo abagala Sam era nange abangeya wadde nga si muntu wa nsimbi naye mpulira mwagala kaakati twafuuka ba mamba buli omu maama awaana yiye baleke balumwe bambi kimuli kyange akasana akaberyeberye omulenzi wange kimuli kyange akasana akaberyeberye Sam gyali Aaa eee iii aaa eee iii Naye abalindabisa ku lunaku luli ku mbaga ey'obugole aa kale kibeera kitya nga kuggwe kwendaba nga ate tutudde wamu nga bangi abatukulisa ng'era ddala kyekyo nange nkyerabirako bulabo obututonerwa nabwo nga kwendaba nga bingi ebitubuulirwa nga batukuutira fena tukuumagane mu bulungi ne mu bubi oba naawe onjagala bambi kiki ekikwekomomya kiki ekiryawukanya obulamu bwange okumpi n'obubwo oba naawe onjagala taata kiki ekikwekomomya kiki ekiryawukanya obulamu bwaffe kate nkubuuzeemu byonna bisabwa busabwa naffe tusabe nnyo bambi naffe tuzaaleyo akaana bambi kayite ku maama erudda kayite ku taata ekirabo kyaffe bambi Sam wange Nze nage nkyagala nnyo okufuna ku maka naye nnyabo ebizibu byebingi kansabe Katonda ampe nga nange bwempakasa byonna ebyo Katonda y'ayamba kale kibeera kitya ng'oyingidde mu maka ng'erinnya erimpitibwa lya mwami Rehema ekintu kyendabye towankawanka nga ekyo kyo kibeera kibi ttaabbu Olina kulinda nnyo at'ogumiikiriza okutuuka wendifunira ensimbi wabula mwana muwala teweeraliikirira oyinza okulowooza nti nnimbye ensi ekkubye akawuna kawoolere taata omundabira nnyo ngenze But keep our love secretly nkulaba bwobibuulira abangi Guluma guluma omukwano guba gwakabi ttaabbu laba nkaaba nsinda emikwano giba gyakabi ttaabu guluma omukwano guba gwakabi ttaabbu kyokka nze nange nkabira mu ggwo nga ggwe maama eee eri abo abatalina balumwa eri abo abatalina balumwa nkaaba nsinda mukwano guba gwakabi ttaabu laba ndaaga nkaaba omukwano guluma bubi nkirabye (end)
Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out