Similar Songs
Credits
COMPOSITION & LYRICS
Rowenah Birungi
Songwriter
PRODUCTION & ENGINEERING
Samuel Bisaso
Producer
Lyrics
Atuula mu kifo eky'ekyama eky'oyo ali waggulu ennyo
Yanabeela nga wansi wekisikilizekye omuyinza webintu byona
Naayogeranga ku Mukama nti oyo Kye kiddukiro kyange
Era kye kigo kyange Katonda wange gwe nneesiga
Kubanga oyo y'anandokola mu mutego ogw'omuyizzi
Nemukawumpuli omubi
Anaambikkanko n'ebiwawatiro bye
Wansi w'ebyoya bye
Siityenga lwa ntiisa ya kiro
Newakubadde akasaale akayita emisana
Kalube olumbe olutambulira mu kizikiza
Amazima go ye ngabo yange
Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwange
Ela akakumi ku Mukono gwange ogwa ddyo
Tebilinsembelela nze
Kubanga Mukama, oli kiddukiro kyange
Era ndi mukigo w'otuula
Tewali kabi kanantukako
Tewali kibonobono kilisembelela nyumba yange
Laba osindika bamalayika bankuume
Bampanilile mu mikono gyabwe
Neme okwesitala ekigele ku jinja
Siityenga lwa ntiisa ya kiro
Newakubadde akasaale akayita emisana
(siityenga...)
Kalube olumbe olutambulira mu kizikiza
(siityenga...)
Amazima go ye ngabo yange
Nkutadeko okwagala kyoliva omponya
Onangulumiza wagulu kuba nkumanyi
Bwenakukaabila oli mpita
Onampangaaza nnyo onanzikusa obulamu
Nkutadeko okwagala kyoliva omponya
Onangulumiza wagulu kuba nkumanyi
Bwenakukaabila oli mpita
Onampangaaza nnyo onanzikusa obulamu
Siityenga lwa ntiisa ya kiro
Newakubadde akasaale akayita emisana
Kalube olumbe olutambulira mu kizikiza
Amazima go ye ngabo yange
Writer(s): Rowenah Birungi
Lyrics powered by www.musixmatch.com