Lyrics

This is for you maama Bukenya From Gilbert Maama maama, maama Maama omulungi bwati Maama, maama Maama Mukama akukume Mbadewo emyaka mingi nga nina gwentunulira Gyetwava mubwavu munakku nga bangi abatusekerera Naguma nanjola, nga ninga kabiritike, kamu Abaseka ne baseka oguzina nafungiza, alime Mu biseera ebyo ebitali byangu eby'entalo ebizibu Nga olusi zivuga, mu mitala naye tewasula Ngozi N'ebindi bingi, byewakola mbewo sibyogera (binkabya) Bamaama bangi, abali eyo naye asinga gwe (taliyo!) Era nze bwenkwagala, bwenakwagala Era ndikwagala paka paka Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa) Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange) Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange) Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa) Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange) Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange) Yegwe eyabeerawo omulungi omulenziwo omu bwenti Walera n'owelera, tewakoma Ne benzadde n'oleera Eyali afudde, ng'era buli omu nga aweddemu essuubi Byebyo byengamba byesagala na kwogerako, binkabya! (Binkabya) Nze Bukenya kyendi (uh) Ebitibwa mwendi (uh aah) Ndaba gwe maama (uh ah) Ate era nkimanyi (uh aah) Ogenda kuba bulungi (uh aah) N'abakusabira bangi (uh aah) (Bangi nyo) Kati ndaba oli awo, oh mukwano amaanyi gakuwedemu Abakwagala bangi nyo maama Era nabo bagamba kimu Nti oyo ajja kuba bulungi lwakuba, ffena tumwagala paka paka Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa) Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange) Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange) Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa) Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange) Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange) Kati bino ebisembayo, mukwano Maama wange omulungi Ebintu byokoze mu nsi eno Ne Mukama Katonda abisimye Y'ensonga lwaki akukumye N'otuuka mu jjino emyaka Emikisa gy'olina mu nsi eno, gyirisigala nawe Franscisca! Nkwagala nyo, oh omukwano maama wange (Franscisca!) Ne bazzukulubo abalungi, n'olera gwe (Franscisca!) Bakwagala nyo, nabo era jjaja yabwe (Franscisca!) Bakwagala nyo, abe e Muduma, Nabulo wabwe (Franscisca!) Baaba Nansamba, naye ali eyo, akwagala nyo (Franscisca!) Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa) Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange) Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange) Nabulo ne bwokadiwa otya obulungibwo gwe ku nze (tebukadiwa) Ne bwoliba ogenze wa, ndisigala ndi nawe (maama wange) Nze simanyi na kyendikola, omanye nga bwenkwagala (mu mutima gwange) Nabulo Nabulo oh Nabulo maama Maama, Nabulo Nkwagala nyo, oh oh Maama, maama Nkwagala nze
Lyrics powered by www.musixmatch.com
instagramSharePathic_arrow_out